OLUTALO KUTTAKA MUBENDE.

Wabalusewo olutalo kuttaka oluvanyuma lwo mugagga Mosses Karagwa Kalisa okureta abasilikare bekitongole kyobwanakyewa ekikumi ekya star React Security Company ltd okukuma ettaka abatuuze lyebagamba nti aliba bubi okuva kubatuuze.
Abatuuze olurabye nga omugagga Mosses Kalagwa Karisa arese abasilikare okukuma ettaka lino nabo nebareta Abasilikare ababwe okukuma ettaka lino wamu nebilime byabwe omugagga obutabyonona abatuuze bapangisiza abasilikare okuva Detaille Security Services Ltd bakume ettaka lino wamu nebilime byabwe.
Emunddu eziwera 20 zezibade kuttaka lino erikayanilwa abatuuze wamu nomugagga Mosses Kalagwa Kalisa abatuuze bagamba nti police ye Mubende omugagga yagifula mukage kyayagara kyebakola kwekusarawo okureta bano abobwananyi okukuma ettaka lino wabula abatuuze bagamba nti omugagga ayagara okuba ettaka lino wabula tayina biwandiko bimuwa ttaka lino.
Abatuuze bagamba nti omugagga ono ayaga okweyambisa ekiwandiko kyakoti ekigingilire okusobola okuba ettaka lyabwe kyebagamba nti tekijakusoboka abatuuze bagamba nti oba omuntu afilawo betegefu okuffa olwettaka lyabwe nga newankubade police eyagara okugoba abasilikare okuva kuttaka lino wabula bagamba okujako nabomugagga baveko kuttaka lino.
Abtuuze bagamba nti omugagga ono yabago kuttaka eryasoka era yeyambisa police okubagoba kuttaka enyumba zabwe Emere buli kintu kyasanawo wabula nebagula ewalara kyo neon omugagga ayagara okubagoba kuttaka kwekuleta abasilikare okukuma ettaka lino wamu nebintu byabwe abatuuze bongedeko nti omugagga alundila munimilo zabwe asobole okubagoba kuttaka lino wabula tebaja kuvako.
Addumila Police mu Wamala Region Ovuru Binega asose mulukiiko nabatuuze okusobola okubasaba okujayo abasilikare wabula neberema nga bamugambye nti nomugagga ajeyo ababeRPC era asabye ebitongole ebikumi onbuteyingiza mukayana zattaka zona wabula akulira emilimu mukitongole ekikumi ekya Detail Security Services Ltd yetonze era anategeza nti abasilikare bagenda okubajaayo oluvanyuma police nga eddumilwa DPC wa Mubende police Enock Abaine ettuse kuttaka lino okukakanya embera wabula DPC agamba nti batide nti sawa yona bandikubagana amasasi nabasaba bulyomu okuja abasilikare kuttaka lino.
Abatuuze abasangidwa nga bapangisiza Tulakitta nga balima police esaze akasera akazibu okubamatiza okuja abasilikare kuttaka lino wabula ngabatuuze barangila police okwekobana nomugagga okunyaga ettaka lyabwe kubanga baina ekyapa era District ye Mubende yabakiliza okulikuba basobole okufuna ekyapa kuttaka lino.
Ssentebe wekyalo Mundade LC1 ebimu omugagga byagenda omusenda wo agambye nti kati abantu betamidwa oluvanyuma lwomugagga ono okubagobaganya kuttaka ate newabandisubide obuayambi omugagga atekayo sente wabula omugagga ono talabiseko mulukiiko luno okujako omukubakozi be aze nategeza nti bayina ekyapa kye ttaka lino wabula bano abantu bagara okuliba nabalubula okulivako wabula nabatuuze nabo bagamba nti balina ekyapa kuttaka lino.
Omugagga Kalagwa Mossese jebuvudeko ariko abantu abasoba 5000 beyagoba kuttaka eriwezako sukyeya miyilo 5 era singa omugagga ono anagenda mumaso nentekateka ze abantu abasoba 6000 beboleke okubera ngatebaina webaraga ettaka lino riwezako Sq mailo 7 Bino bibade mugombolola ye Kitumbi S/C wano mubende era ebyalo 10 byebija okusengulwa.
abatuuze nga bakute amajambiya

Advertisements

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s