1 AFUDDE OMUTI BWEKUBYE ENYUMBA MWABADDE.

ABATUUZE NGA BASIKAYO OMULAMBO GWA TEBESIGWA WANSI WO OMUTI

AKULIRA POLICE YE KITENGA KYALIGONZA HERBERT

BYEKWASO EYABADDE NO OMUGENZI

IMG_4142

OMULAMBO GWA TIBESEGWA

SENTEBE KYEUNE FULIGENSIO

Enkuba etonnye e Mubende nga yetobese mu omuzira ne kibuyaga
eviriddeko abamu ku batuuze okufirwa obulamu olwe emiti egyiguluka ne
gibagwira saako ne nyumba.
kino kidiridde namukadde owe myaka 50 Tibesigwa Thomas Lukwago
eyakubiddwa omuti ogwasuliddwa kibuyaga abadde mu nkuba olunaku
lwaleero.
Okusinzira ku akulira police ye Kitenga Aip Kyaligonza Herbert agamba
nti omugenzi Tibesigwa abadde mutuuze ku kyalo kye Kabunyonyi mu
gombolola ye Kitenga mu distulikiti eye Mubende era nga omuti
ogwakubye enyumba ye gwabadde gukadigye nga gutandiise no kuvunda nga
enkuba eyatonnye nga eri mu kibuyaga yeyaguviriddeko okugwa.
Kyaligonza avumiridde ekikolwa kya batuuze okuzimba amayumba gabwe
okulirana emiti kubanga gisibola okuwagukako amatabi ne gabakuba nagyo
gyengini okusigukayo negibagwira nga ekyatuuse ku Tebesigwa.
Byekwaso Mugula ono nga yeyasimatuuse okuffa era nga yabadde no
omugenzi agamba nti enkuba yatandiise ku saawa nga mwenda ezolwegulo
nebaddukira mu nyumba okwegama wabula yabadde mu kibuyaga owamannyi
eyasigukuludde omuti guno era bagenze okuwulira nga gukuba enyumba
mwebabadde begamye okukana nga munne afiriddewo kwe kukuba endulu.
Ye sentebe we kyalo kye kabunyonyi Kyeyune Fuligensio agamba nti
yetegezeddwa abamu ku batuuze nga Tibesigwa bwa akubiddwa omuti era
nga ali mubeera mbi ddala baganze okugezako okumutaasa nga ya maze dda
okuffa.

Advertisements

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s