ABANTU 30,000 E MUBENDE BOLEKEDDE OKUTONDOKA ENJALA

ABANTU 30,000 E MUBENDE BOLEKEDDE OKUTONDOKA ENJALA.
BYA  KIMAZI EXPERITO
Abantu abasoba mu 30,000 okuva mu maka 13000 abasengulwa okuva e
kiboga ne bayibwa e Mubende bolekedde okutondoka enjala ne ndwadde era
nga bali mu mbeera mbi nnyo.
kayinda uhuziye nga ono ye sentebe we kibinja ekyasengulwa okuva ku
ttaka lye Ruhunga mu disitulikiti ye kiboga  abekitongole kye bibira ne
babasubiza okubafunira ettaka ne mere e mubende ku kyalo kye bukompe
ekisangibwa mu gombolola ye Nalutuntu e Mubende.

Kayinda agaseeko nti basubizibwa ettaka eliweza hectares 780 naye
bawebwako 100 kyooka Ku kyalo Bukompe e Mubende era nga bali mukanyigo
akatalojeeka.

Bano mu kulajana okungi nti mu kiseera kino bolekedde okutondoka
endwadde wamu ne njala olwo kubulwa emere , tebalina mazzi,basula
bweru abalala mu matudubale, tewali malwaliro yadde esomero.

Ye omukise akikirira e gombolola ye Nalutuntu ku disitulikiti e
mubende kagaba erick ategezeza nti yakoladda alipoota ekwata
kukubonabona kwa bantu bano nagiwa abakulu kudisitulikiti e mubende
naye nga tandibwa mu.

Bano okutuka okusengulwa kutta lyabwe kidilide ekitongole kya New Forest Company okubasengula kuttaka lya nga kibasubiza okubagulira ettaka eddal wano Mubende Heka 1750 wabula bageze okutuka wano nga wali Heka 100 zoka  bano bagamba nti basubizibwa Masomero, Malwalilo sako Enguddo wabula kubino tewali kyebayina wano era nga banatera okuffa enjara.

Bwe tutukiridde abe kitongole kye bibira ekivunanyizibwa ku kusengula
abantu bano amasimu gabwe agomungalo ne kumeeza gavuga nga tewali
akwata.

Advertisements

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s