ABALWADDE ABASOBA 800 E MUBENDE OBULAMU BWABWE BULI MU MATIGA

ABALWADDE ABASOBA 800 E MUBENDE OBULAMU BWABWE BULI MU MATIGA

Abalwadde abasoba mu 800 e Mubende obulamu bwabwe buli mu matiga lwe ddwaliro mwe babadde bajanjabibwa okugoyagoyezebwa kibuyaga ne lisanyizibwa wo lyonna.

Akulira eddwaliro lya Bweyongedde Health Centre nga lino lyagoyagoyezeddwa kibuyaga Erick Kasiyano Godfrey nga ali wamu no mubaka wa Kasanda Lubega Godfery bategezeza nti abalwadde abasoba mu 800 abajanbibiriwa ku ddwaliro lino mu kiseera kino obulamu babwe buli mu matiga.

Kasiano ne lubega bagaseeko nti bintu ebyoneneddwa ku ddwaliro bibalirwamu ensimbu ezisoba mu bukadde 26 era mu kiseera tebamannyi ki kye bagenda kukolera balwadde abadde bajanajabibwa mu ddwaliro lino.

Kasiano agamba  nti box ze ddagala zonna ezabadde zakawebwa zajudde amazzi ne zimu ne zitandiise no okutengejja  olwa  mbuyaga  eyatimbuddeko obusolya bwe ddwaliro ne nyumba za basawo lya Bweyongedde Health Centre nga lino lisangibwa mu gombolola  ye Kalwana mu disitulikiti ye Mubende kwogata no kumenyamenya ebisenge bye bizimbe.

Enkuba eno yemu yatimbuddeko na kasolya ku somero lya Bweyongedde Primary School  kwogata ne nyumba za batuuze abasoba mu 30 era nga emere omuli muwogo, ne nsuku zamatooke byonna byasanyiziddwa wo.

Mu nsuku enene ezabadde zigudde akaleka eazsanyiziddwawo mwe muli  olwo omusumba  wa Christian city church wakayiba nga ono hecatare 5 eza matooke ze zasanyiziddwa wo.

Bano bawanjagidde government ebafunire ekyo kulya ,amatundubale saako ne byo kwebika

Advertisements

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s